Kitalo!
Omutendesi wa Kkiraabu ya
URA Football Club Sam Timbe afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro lya Nakasero Hospital mu ICU, gyeyasindikiddwa okuva mu St Catherine Hospital ettuntu lyaleero.
Enteekateeka y’okuziika abadde omutendesi wa ttiimu ya URA, Sam Timbe zifulunye. Leero wagenda kubaawo okusabira omugenzi mu maka ge e Kavumba mu disitlikiti ye Wakiso. Bagenda kumusabira enkya ku kkanisa e Namirembe ku ssawa 4:00 zennyini ez’okumakya, oluvannyuma omulambo gutwalibwe e Namayumba ku Kyalo Kaloke, mu disitulikiti ye Nakaseke gyagenda okuziikibwa ku ssaawa 8:00 ez’emisana.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.