Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 491 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Lwaki mutulemesa okulambula emirimu egikolebwa e Lubowa – Hon. Muwanga

April 26, 2024 · Mubiru Ali
Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti aka Public Accounts Committee Muhammad Muwanga Kivumbi, avuddeyo nategeeza nga okukyala kwebaali bategese okugenda okulaba emirimu gyokuzimba eddwaliro ly’e Lubowa wegituuse bwekusaziddwamu. Kivumbi ategeezezza nti Sipiika Aming yabalagidde bongezeeyo okulambula kuno kiwe Kkampuni enzimbi obudde okugulira Ababaka ebintu byebanayambala nga balambula ekifo awazimbibwa.
Akakiiko kallina okugenda e Lubowa nga 12-April-2024 wabula kkampuni nebasaba bakyuuse bagendeyo nga 22- April wabula ku Akakiiko nekungezaayo okutuusa olwaleero nga 26-April wabula nti kibabuuseeko ab’e Lubowa bwebasabye babongere obudde.
Muwanga ayongeddeko nti babasaba amannya g’Ababaka abagenda wamu ne size y’engatto gyebambala.
Muwanga agamba nti si muntu wafujjo era muguminikiriza nnyo nti asobola n’okuwerekera abantu okubatuusa ew2aabwe era wano wasabidde abali mu buyinza okuva mu bintu by’eddwaliro baleke Akakiiko kakole omulimu gwako.