ABA ARCADE NE KIKUUBU MU KAMPALA MUKYALI AWAKA ENAKU 5 ENDALA

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku Kibuga Kampala Kabuye Kyofatogabye avuddeyo nasaba abasuubuzi abakolera mu Kikuubo obutetantala kujja mu Kibuga Kampala ku bbalaza okutuusa nga bamaze okwekeneenya ekifo kino.
Ku lunaku olwokutaano ekiro Pulezidenti @Yoweri Kaguta Museveni yaguddewo e Kikuubo ne Arcade okwetoloola eggwanga lyonna wabula nebiragiro ebirina okugobererwa.
Minisita ategeezezza abasuubuzi nti nga 2 August, tebagezaako okukeera mu Kikuubo nga kino kitegeeza nti ne arcade zonna eziri Nabugabo, Luwum street, Ben Kiwanuka nawalala nazo si zakuggulwa bwagambye.
Agamba zino zakuggulwawo nga Kampala COVID-19 task force emaze okubyekkaanya obulungi nebawa ne satifikeeti ebasobozesa okuggulawo.
Abalabudde nti tayagala bafune buzibu nabebyokwerinda nti bagira babeera awaka kuba kino kigenda kubatwalira enaku 5 zokka. https://youtu.be/gXKThX-2qzY

LWAKI OMYOYO GWA BUGANDA OGUTAFA OGUSEMBEZA ABALALA MUGUTWALA NGA MUNAFU? – KABAKA

Okwogera kwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bufunze; “Twebaza abatwegasseeko okuvumirira obukulembeze obutagoberera mazima namateeka. Tuvumiridde nnyo okusosola Abaana abawala.
Twongere okukuuma ennono nolulimi Oluganda nga tubisomesa abaana baffe.
Ffenna tujjukira nti okuzzaawo obwakabaka mu 1993 twayita mu mitendera omwali okwenyigira obutereevu mu kujjawo obwannakyemalira.
Tubakubiriza obutakoowa okutuusa nga tutuuse ku mazima nobwenkanya.
Tuvumirira nnyo bannaffe abo abaagala okutujja ku mulamwa.
Aboogera ku ttaka lya Mayiro, Lwaki ettaka mu bitundu ebirala bbyo tebyogerwako?
Lwaki omwoyo gwa Buganda ogutafa ogusembeza abalala mugutwala nga omunafu.”
Mukama Katonda Wangaaza Ssaabasajja Kabaka waffe ngalamula Obuganda.

BUGANDA TEYAGALANGAKO KWEKUTULA KU YUGANDA

https://youtu.be/AS6GcnNXCIo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II; “Lwaki abantu balowooza nti okusembeza abantu abalala mu Buganda bwe bunafu bwaffe? Buganda teyagalangako kwekutula ku Uganda. Tekibangawo. Tuvumirira abatujja kumulamwa nga tujjukiza abakulembeze ensonga zino. Twenyigira mu kulwaniriira enfuga bbi mu nsi yaffe. Tuvumirira enfuga etagoberera mateeka.” #Amatikkira28
https://youtu.be/AS6GcnNXCIo