Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 160 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

8 bakwatiddwa lwakukozesa kifuba nebasenda ettaka

April 25, 2024 · Mubiru Ali

Ettuntu lyaleero Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne bambega ba Uganda Police Force batutte abantu 8 mu Kkooti e Wakiso nga kigambibwa nti bano basengula abantu ku ttaka wamu n’okwonoona ebintu byabwe.
Kigambibwa nti nta 6 April 2024, bano okuli; Nabwami Edith, Kakule David, Nathan Junju Kato, Nakimbugwe Margaret, Musisi Fredrick Kantu, Semakadde Stephen, Ndawula Arafat, Seruyange Siraji nabalala abatanakwatibwa bakozesa ekifuba nebasenda ettaka eriweza yiika 5 n’oluvannyuma nebalikutulakutulamu ku kyalo Muyomba, Busiro County, mu Disitulikiti y’e Wakiso nga lino lya Kityo Henry. Bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 8/05/2024.