Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 162 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Ettaka ly’e Luzira terikyawera – Hon. Nambooze

April 25, 2024 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga mu ku ludda oluwabula Gavumenti era omubaka wa Munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke akubye ebituli mu alipoota ya Gavumenti ey’okusengula ekkomera ly’e Luzira eyaleeteddwa Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi eri Palamenti olunaku olw’eggulo gyagamba nti bino byooya bya nswa nga bweguzze guba ku bifo ebirala ebisengulwa ate ebiruubirirwa nebitatuukirira.
Mu lukuŋŋaana lwa Bannamawulire lwatuuzizza ku Palamenti Omubaka Nambooze ategeezezza nti okutandikira ku bunene bw’ettaka Gavumenti lyegamba ekkomera ly’e Luzira kweritudde ssi lyetuufu nga lizze likekejjulwa nga mu kino betaaga bbo nga Palamenti basooke basituke bapime ettaka lino okumanya ekituufu ekiri e Luzira kubanga bandikaayanira ekifo ekyaggwawo edda.
Nambooze asabye Babaka banne mu Palamenti okussa ekimu nga enkuyega bwebatuuka ku kiteeso ekigenda okuleetebwa mu Palamenti okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno nga bwebasuubiziddwa Sipiika wa Palamenti balabe nga basimbira ekkuuli ekyokusengula ekkomera lye Luzira.