

Batugambye Besigye mugonvu nnyo yebase tetumulabye – Bobi Wine
Abakulembeze ku ludda Oluwabula Gavumenti nga bakulembeddwa Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nabalala bagenze ku kkomera e Luzira okukyalira ku Dr. Kizza Besigye. Bano bategeezezza nti tebasobodde kumulaba oluvannyuma lwabakulira ekkomera e Luzira okubategeeza nti ono mugonvu nnyo era awumuddemu tajja kusobola kubalaba. Wabula bategeezezza nti munne Hajji Obeid […]

Minisita Janet asiimye abakulembeze b’e Ntungamo
Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni; “Bwetwasisinkanye Abakulembeze b’e Ntungamo nga ndi ne Muzeeyi, nasiimye amaanyi gebataddemu okukola enguudo zaffe. Bwotunuulira obunene bwa Ntungamo nekubeera ekitundu ekyensozi, twetaaga okufuna ebyuuma ebikola enguudo ebipya wamu n’amafuta agamala. Ebiriwo bikoze bulungi naye bikaddiye.” #ffemmwemmweffe

Besigye ali mu mbeera mbi – Munnamateeka Erias Lukwago
Erias Lukwago nga ye Munnamateeka wa Dr. Besigye avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Face Book nategeeza nga Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwagiddwa mu kkomero e Luzira mu motoka agafemulago natwalibwa mu Ddwaliro eryobwannanyini e Bugoloobi oluvannyuma lwembeera ye okutabuka. Lukwago; “More prayers for Dr.Besigye currently at a private medical facility in Bugoloobi where he […]

Nkyalidde Besigye nemusaba addemu okulya – Minisita Baryomunsi
Minisita avunaanyizibwa ku kulungamya Eggwanga nebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga bwakyalidde ku Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye olwaleero e Luzira mu Kkomera nga n’Abasawo be babaddewo. Ono ategeezezza nti amuwadde amagezi era namusaba addemu okulya emmere nga Gavumenti bwekola entegeka ekyuusa omusango ggwe okugutwala mu Kkooti eyabulijjo okuva […]

Abantu abali ebweru w’Eggwanga temwerabira buvo bwammwe
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ababeera ebweru w’Eggwanga, America, Bulaaya, Asia n’awalala obuteerabira buvo bwabwe. Katikkiro Charles Peter Mayiga okwogera bino abadde Mbuya mu maka g’omugenzi Owek. Tony Kiyimba Kaggwa, gy’agenze okukubagiza namwandu Eva Kagwa olw’okufiirwa mutabani we Kaggwa Kimera Kagwa eyafiira e Australia gyebuvuddeko. Katikkiro agamba nti omugenzi Kimera Kagwa mu Australia gy’abadde […]

Uganda Media Association teyenyigira mu byabufuzi – Dr. Andrew Mark Muyanga
Ekibiina ekitaba Abasawo mu Ggwanga ekya Uganda Medical Association kivuddeyo nekisambajja ebibadde bitambuzibwa nti kyavuddeyo okulwanirira musawo munaabwe Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, bano bagamba nti ekibiina kyaabwe si kyabyabufuzi era tebalina nteekateeka yonna yakwenyigira mu byabufuzi. Ebyogerwa nti tutegese okuteeka wansi ebikola okwetoloola Eggwanga lyonna nga twekalakaasa olwa Besigye benoonyeza byabwe. Bino byogeddwa owamawulire […]

Kyonna ekituuka ku Besigye Museveni ggwe avunaanyizibwa – Famire ya Besigye
Aba Famire ya Lt. Col. Dr. Kizza Besigye bavuddeyo nebategeeza nga bwebafunye okusaba okuva eri ekitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service nga kisaba babasindikira omusawo wa Besigye. Bano okubadde; Winnie Byanyima, Edith, Olivia, Martha, Anthony ne Abraham babadde boogerako eri Bannamawulire olwaleero mu Kibuga Mbarara, nebategeeza nti kyanaku omuntu waabwe yawambibwa mu Ggwanga lya Kenya […]

Omulimu gwokuzzaawo Amasiro gutuusu mu mitendera egisembayo
Omulimu gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi gutuuse ku mitendera egisembayo, Ssaabasajja musiimu n’omulimu ogukoleddwa. Okuddaabiriza kabuyonjo, oluggya omusimbwa e motoka, okuyunga amasannyalaze mu buli kanyomero, okumaliriza ennyumba z’Abazaana, bye bimu ku bisigadde okutereezebwa olwo omulimu gw’okugaddaabiriza guggyibweko engalo. Bw’abadde alambula omulimu guno ne Baminisita ba Kabaka ssaako abakiise mu lukiiko lwa Buganda naddala abatuula ku kakiiko […]

H.E atongozza Mirama-Kabale Substation
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atongozza Mirama-Kabale 132KV Substation eno nga yawemmense obukadde bwa ddoola 83.75 nga yazimbiddwa Ceylex Engineering. Eno egenda kuyamba ku kitundu ky’e Kigezi okwongera okusikiriza abasingansimbi okugendayo nga kyakwongera ku makolero wamu n’emirimu. #ffemmwemmweffe