Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 323 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Abavubuka abatalina mirimu banditufuukira ekizibu essaawa yonna – Kasaija

October 17, 2024 · Mubiru Ali

Minisita w’Ebyansimbi Matia Kasaija avuddeyo nategeeza nti Uganda eyolekedde ekizibu ekitagambika ekyabavubuka obutaba na mirimu, ono ategeezezza nti abavuzi ba booda booda abawerera ddala emitwalo 50 bayivu nga balina ne ddiguli wabula oluvannyuma lw’emirimu okubabula basalawo kusaabaza bantu okufuna ekyokulya.
Ono ategeezezza nti bwewatabaawo kikolebwa mu bwangu abavubuka bano bandifuukira abakadde ekizibu. Kasaija ategeezezza nga bwebetaaga okutondawo emirimu mu bwangu okusobozesa abavubuka okufuna ekyokukola, bino abyogeredde mu lukugaana lwa Public Investment Management olubadde mu Makerere University.