Bakutte omusaabaze n’emmundu mu Kisenyi Bus Terminal
Abebyokwerinda mu Kisenyi Bus Terminal bakutte omusaabaze abadde n’emmumdu ekika kya sub-machine gun (SMG) n’amasasi 24, magazine endala 2 ezijjudde amasasi, ejjambiya 3 wamu ne liita 1 eyamafuta ga petulooli nemiguwa.Akwatiddwa ye David Tumwine aka Busoni, ngabadde ava Kyotera ngayolekera mu Disitulikiti y’e Busia.Ono akujmirwa ku Poliisi ya Old Kampala gyatwaliddwa annyonyole gyabadde atwala emmundu […]
Kitalo! Ettabi liwaguse ku muti gwa Nakayimba lisse 4
Kitalo! Abantu 4 bebakakasiddwa okuba nga baafudde oluvannyuma lw’ettabi ku muti ogwebyafaayo oguyitibwa Nakayima ogusangibwa ku lusozi Bbooma okuwaguka nerikuna abantu abasoba mu 10. Kigambibwa nti enjega eno yaguddewo lunaku lweggulo ku ssaawa nga 12 ezokumakya, ngabakoseddwa bebamu ku bantu ababadde betegekera omukolo ogubadde gulina okubaawo olwaleero nga basiima Maama Nakayima. Abebyobuwangwa ku lusozi Bbooma […]
Hajji Ali Mwizera ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Kyaddaaki Hajji Ali Mwizera akiriziddwa Kkooti okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 ezoobuliwo. Ono agugulana ne Mukyala we Hajati Zuula eyavaayo namuwawabira nti yagwenyuuka neyebaka ku muwala we atanetuuka nti era n’obujulizi yali abulina. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe
Omukolo gwa DP-Bloc okulangirira ekiddako gwankya
Aba DP-Bloc bavuddeyo olunaku olwaleero nebategeeza ng’enteekateeka z’omukolo kwebagenda okulangiririra ekiddako olunaku lw’enkya ku Malibu Gardens e Namirembe – Bbakuli ziwedde era ng’olunaku olwaleero abakulu mu Uganda Police Force batuuseeyo okulambula ekifo. Omubaka wa Nnyendo – Mukungwe Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ye mugenyi omukulu. Bya Nasser Kayanja #ffemmwemmweffe
Kekaseera Bannayuganda mukwasize wamu tweyambule Gavumenti – Norbert Mao
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamateeka n’essiga eddamuzi era Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao; “Kifuuse kizibu okubeera mu Uganda enaku zino olw’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye, so nga sukaali akolebwa wano. Kyanaku nti Bannansi basibiddwa emikono nga babanika emisolo emiyitirivu. Mu byonna ekisinga kwekuba nti tebalina mirimu ekibaviiriddeko okubeera mu bwavu obutagambika mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo. […]
Besigye ne Lutale babazizzayo mu kkomera
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya baziddwayo ku alimanda mu kkomera okutuusa nga 10 December, 2024. Bannamateeka baabwe basabye Kkooti ebawe akadde basobole okufuna satifikeeti eyekiseera eya Munnamateeka waabwe abakulira ku musango guno Martha Karua. Kino kidiridde ensinsikano etakiriziddwamu bamawulire wakati wa Besigye ne Bannamateeka be nga ekulungudde eddakiika 30. Bya […]
Abamaggye bawambye ensawo ya Munnamateeka Karua
Executive Director wa UNAIDS era mukyala wa Dr. Kizza Besigye, Winnie Byanyima avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda ku ggeeti ya Kkooti y’amaggye e Makindye bwebawambye ensawo ya Munnamateeka Martha Karua wabula oluvannyuma lwokwogerezeganya okumala akabanga wamu n’abasirikale bano okukuba amasimu agawerako mu babakulira bamuddizza ensawo ye. #ffemmwemmweffe
Pulezidenti Museveni akoze enkyuukakyuuka mu Poliisi
Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngomuduumizi w’okuntikko bwakoze enkyuukakyuuka wamu n’okukuza abamu ku basirikale ba Poliisi; SCP Apora James akuziddwa natuusibwa ku ddala lya AIGP nalondebwa nga Director Engineering and Logistics, SCP Niwabiine Lawrence kati AIGP era alondeddwa okufuuka Director if Traffic and Road Safety, […]
Bannamateeka ba Besigye bagaaniddwa okuyingira Kkooti
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu ne munne bwebavunaanibwa Hajji Obed Lutale Kamulegeya nga batuusibwa ku Kkooti y’amaggye e Makindye enkya yaleero. Bano baaniriziddwa wakati mu mizira abawagizi baabwe. Ekibinja kya Bannamateeka abesowoddeyo okuwolereza Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya abakunukiriza 50 okuva mu Uganda ne Kenya bagaaniddwa okuyingira Kkooti y’amaggye e Makindye. […]