Kabuyonjo eyamalawo obukadde 30 ekwasizza Eng. Aziz owe Wakiso
Omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti y’e Wakiso, Justine Mbabazi, alagidde bakwate Eng. Aziz Abdallah, eyalondoola okuzimbibwa kwa kabuyonjo ku ssomero lya Balibaseka Secondary School e Kakiri, annyonyole engeri ensimbi gyezasaasanyizibwamu ku mulimu guno. Mbabazi agamba nti batandika okuzimba kabuyonjo eno ng’omulimu tegunaggulwawo mu butongole. Mbabazi agamba alina obuvunaanyizibwa bwokulondoola pulojekiti za Gavumenti zonna mu kitundu […]
Minisita Oboth ddayo otuleetere Gen. Muhoozi Kainerugaba
Akakiiko ka Palamenti akvunaanyizibwa ku byokwerinda kagobye Minisiter avunaanyizibwa ku byokwerinda, Jacob Oboth-Oboth nekamulagira okuleeta mutabani wa Pulezidenti, Gen. Muhoozi Kainerugaba era nga ye muduumizi w’eggye lya UPDF annyonyole ku byajja awandiika ku mukutu gwe ogwa X byebagamba nti bitattanye ekifaananyi kya Uganda wano ne ku mutendera gw’Ensi yona. #ffemmwemmweffe
Nambeshe yomu ku bayizi abatikiddwa e Makerere
Nampala w’Ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform John Baptist Nambeshe (Manjiya County), Omubaka Ronald Evans Kanyike, (Bukoto East) ne Patience Kinshaba Nkunda, Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kanungu bebamu ku bayizi abatikiddwa olunaku olwaleero ku Makerere University. #ffemmwemmweffe
NEMA ekutte aba China 9 ababadde basima omusenyu e Mpigi
Ekitongole ekivunaanyizibwa kukuuma obutonde bw’Ensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda nga kiri wamu n’ebitongole byebyokwerinda kikoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako nebakwata abantu 9 nga bano Bannansi ba Chine nga kigambibwa nti babadde benyigira mukusanyaawo olutobazi nga basimamu omusenyu ku kyalo Lwamanya mu Disitulikiti y’e Mpigi. Ebintu byebabadde bakozesa ebiwerako biboyeddwa. #ffemmwemmweffe
Tulinda kiragiro kya IGP kukugaba Police bond – Onyango
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti Uganda Police Force ekyalinda kiragiro okuva ewa IGP eryoke eteekense mu nkola ekiragiro ekyaweebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekyobutaddamu kuwa kuyimbula bamenyi b’amateeka ku kakalu ka Poliisi naddala abo abenyigira mu bubbi. Bya @James Kamali #ffemmwemmweffe
Bbomu ekubye 2 e Njeru nebattirawo
Kitalo! Abantu 2 bakubiddwa ekigambibwa okuba bbomu ne bafiirawo mu Njeru Municipality, mu Disitulikiti y’e Buikwe. Enjega eno egudde ku kyalo Triangle, abalonda sikulaapu gyebakolera ku luguudo lwa Nile – Kayunga. Okusinziira ku berabiddeko, bagamba basoose kuwulira kubwatuka okwamaanyi nebalowooza nti kabenje. Abebyokwerinda batuuse dda mu kitundu okunoonyereza ku kibaddewo. #ffemmwemmweffe
Muleete Eron Kiiza alina okubeera ku ttiimu ya Bannamateeka ba Besigye – Karua
Bannamateeka ba Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nga bakulembeddwamu Munnamateeka Munnansi wa Kenya Martha Karua bakalambidde nti baagala Kkooti y’Amaggye ereete munaabwe Eron Kiiza gweyakaliga emyezi 9 okuva mu kkomera e Kitalya akole omulimu ggwe kuba ali ku lukalala lwa Bannamateeka ba Besigye nga buli omu alina kyalina okukola ku musango guno. Karua agamba nti […]
Abagambibwa okubeera ababbi bakubiddwa amasasi ku Mawanda Road
Kitalo! Abebyokwerinda basse abagambibwa okubeera ababbi ku luguudo lwa Mawanda Road olweggulo lwaleero nga bano babadde batambulira ku booda booda. Okusinziira ku mwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango agamba nti bano babadde nolukwe lwokubba ssente okuva ku kkasitoma abadde ava mu bbanka ya Stanbic. Bya Amayiko Martin #ffemmwemmweffe
Abadde agenze okubba booda booda Entebe yefumise ekiso
Waliwo agambibwa okubeera omuzigu nga kigambibwa nti abadde ayagala kutemula wa booda booda amutwaleko piki piki ye mu bitundu by’Entebe nti wabula bwamutebuse neyefumita ekiso neyetta. Bya Shanitah Nabwabye #ffemmwemmweffe