Sports

Sports Update from Uganda

Uganda eyagala kutegeka ne Kenya wamu ne Tanzania AFCON 2027

Olunaku olwaleero abakungu okuva mu Kibiina ekitwala omupiira ogw'ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga bakulemeddwamu FUFA Pulezidenti Eng. Moses Magogo, bano bakulembeddwamu omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa , Minisita w'ebyemizannyo Ogwanga Ogwanga basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni…

Moses Muhangi asindikiddwa ku alimanda

Pulezidenti w’ekibiina ky’ebikonde mu ggwanga, Moses Muhangi asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuuka nga 31 May oluvannyuma lw’okugaanibwa okweyimiriwa mu Kkooti y'omulamuzi w'eddaala erisooka e Nakawa. Ono avunaanibwa emisango okuli okukujingirira ebiwandiiko.

Pulezidenti wa UNF Babirye ayimbuddwa

Pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF), Babirye Kityo Sarah eyasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga 15-May ku misango gyokufuna ssente mu lukujjukujju obukadde 16 ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti olunaku olwaleero. Kityo omutuuze w'e Bukasa…

Babirye Kityo akomezeddwawo mu Kkooti

Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation , Hon. Babirye Kityo Sarah aleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road okwewozaako ku musango gw’okujja ku bantu ssente mu lukujjukujju wamu n'okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.

Empaka z’Ebika bya Buganda zitandika lwaleero

Olunaku olwaleero empaka z'Ebika lwesitandika era nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda okugiggulawo mu Mutessa II Stadium e Wankulukuku. Ekika kye Nkima be Ngabi e Nsamba byebiggulawo mu mupiira ogw'ebigere n'okubaka. Katikkiro Charles Peter Mayiga …

Gor Mahia ekansizza Bannayuganda

#SimbaSportsUpdates Kiraabu Gor Mahia FC yakansizza abasambi okuva mu Yuganda okuli; Partrick Kaddu okuva mu Kitara F.C Hoima ne Shafiq Kagimu okuva mu URA Football Club . Bano bombi basambye olunaku lw'eggulo Kaddu nabateebera ggoolo 3 mu kitundu ekyokubiri Gor Mahia bweyabadde…

FUFA ekoze enkyuukakyuuka ku ttiimu z’eggwanga

Omukulembeze w'ekibiina ekifuga omupiira ogw'ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Eng. Moses Magogo avuddeyo nalangirira enkyuukakyuuka ezikoleddwa ku ttiimu z'eggwanga ezomupiira; "Ebifo byonna ku Ttiimu z'eggwanga 10 bisigadde bikalu okuleka ku ttiimu ya Uganda…