Kitalo!
Omuddusi w’emisinde addukira Uganda Benjamin Kiplagat asangiddwa nga yafumitiddwa ebiso nattibwa ng’omulambo gwe gusangiddwa mu motoka ye ku luguudo oludda ewuwe e Kimumu mu Eldoret mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Poliisi egamba nti bamufumisi ekiso mu kifuba nebamusala n’obulago era nga omulambo gwe gusangiddwa mu kifo kya ddereeva.
Eyongerako nti webamutidde basanzeewo piki piki gye yatomedde nga kirowoozebwa nti abamusse gyebabadde bakozesezza okuziba ekkubo.
Kiplagat nga nzaalwa ye Marakwet East, ngabadde atendekerwa Eldoret gyava okujja okukiikirira Uganda mu misinde egyenjawulo.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.