Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 155 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Munnansi wa China akwatiddwa lwakutunda bintu by’amaggye

May 6, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu ttunduttundu lya Kampala Metropolitan North bweyakola ekikwekweto mweyakwatira Munnansi wa China, JIN YUNGUNG, 33, ngabadde abeera Ganda mu Nansana Municipality, Wakiso.
YUNGUNG abadde n’edduuka nga litunda ebintu bya Gavumenti ya Uganda mu bumenyi bw’amateeka okuli engatto z’amaggye, yunifoomu wamu ne giraavuzi. Abadde n’edduuka ku kizimbe kya Kasaga Shop No.14, era nga ebintu bingi ebyamaggye ebyefaananyiriza eby’Eggye lya UPDF ne SFC ebyasangiddwa mu Dduuka lye.
Poliisi egamba nti YUNGUNG abadde akolagana n’omuntu ategeerekeseeko erya Frank nga kigambibwa nti ali mu ggye erikuuma omukulembeze w’Eggwanga erya Special Forces Command (SFC), eyamuwa amagezi okutandika bizineesi eno era nga yabadde agiteekamu ssente. YUNGUNG yategeezezza Poliisi nti yunifoomu ezimu babadde bazigula Somalia. Kyazuulidwa nti YUNGUNG yayingira Uganda ng’omulambuzi nti era kyabadde akola nga visa ye bweggwako nga agenda mu mawanga agalinaanye Uganda ng’oluvannyuma akomawo.