Eyaweebwa kkontulakita okuzimba essomero e Tororo akwatiddwa

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Entebe nga kakolera wamu ne bambega ba Poliisi bakutte Natuhwera Polly, Director wa Zionat Multipurpose Limited, ku misango gyobukenuzi. Kigambibwa nti mu December wa 2023, yaweebwa kkontulakita yokuzimba essomero lya Mwello Seed School mu Disitulikiti y’e Tororo nga yali ya nsimbi 648, 323, 714/= nga yali wakulimaliriza nga 30 May 2024. Ekifo weyalina okuzimba essomero kyamukwasibwa mu February naweebwa ssente ku mulimu guno 162, 080, 929/= Wabula n’okutuusa nga 19 April 2024 essomero lyali terivanga mu musingi.

Bweyakunyiziddwa yategeezezzanti obukadde 162 yabukozesa ebintu ebirala. Okunoonyereza kulaga nti yadde mu kaseera kokukola bid yalaga ebiwandiiko bya Yingiya abatendeke naye abaali bazimba baali tebewandiisangako era tewaali wo mukugu yenna.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Waliwo obulumi obumu nga nebigambo tebisobola kubunnyonyola!?

Waliwo obulumi obumu nga nebigambo tebisobola kubunnyonyola!? ...

21 0 instagram icon
Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates agenda akuba ku matu. Abantu be ab'e Kawempe abaagaliza olunaku lwa Eid Al-Adha olulungi.

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates agenda akuba ku matu. Abantu be ab`e Kawempe abaagaliza olunaku lwa Eid Al-Adha olulungi. ...

93 1 instagram icon
Abawuliriza baffe tubaagaliza olunaku lwa Eid al-Adha olulungi. Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Abawuliriza baffe tubaagaliza olunaku lwa Eid al-Adha olulungi. Ffe Mmwe Mmwe Ffe ...

4 0 instagram icon
Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement - NRM akiikirira Busiki County Hon. Paul Akamba yakwatiddwa olunaku lw'eggulo abebyokwerinda ngayakayimbulwa Kkooti natwalibwa mu kifo ekitategeerekese.
Mu Gasimbagane ne Bannamawulire ne Peter Kibazo, olwaleero tugenda kwogera ku nsonga ezenjawulo mu Ggwanga.

Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement - NRM akiikirira Busiki County Hon. Paul Akamba yakwatiddwa olunaku lw`eggulo abebyokwerinda ngayakayimbulwa Kkooti natwalibwa mu kifo ekitategeerekese.
Mu Gasimbagane ne Bannamawulire ne Peter Kibazo, olwaleero tugenda kwogera ku nsonga ezenjawulo mu Ggwanga.
...

30 3 instagram icon
#FreeStyle 🔥🔥🎤Friday Mundeke-Ngende ➡️➡️➡️Nze Live 97.3 Yogera Wotudde Endongo etandise
#footsoojauganda
#freestyle
#suremanssegawa
#nvamubende

#FreeStyle 🔥🔥🎤Friday Mundeke-Ngende ➡️➡️➡️Nze Live 97.3 Yogera Wotudde Endongo etandise
#footsoojauganda
#freestyle
#suremanssegawa
#nvamubende
...

12 1 instagram icon