

Bobi Wine amazaalibwa agakulizza mu Ddwaliro e Nkozi gyebamuzaalira
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Ku Lwokutaano nga, 12 February 1982 mu lutalo lwa NRA, nazaalibwa mu Ddwaliro e Nkozi eri Margaret Nalunkuuma ne JW Sentamu. Olwaleero nsazeewo okukyalira eddwaliro gyebanzaalira okugabana okwagala ne ba Maama wamu n’abaana abawere ku lunaku lwerumu lwebanzaalirako mu Ddwaliro lino. Neebaza abakulira Eddwaliro […]

Bannamawulire babasomesa ‘ethics’? – IGG Beti Kamya
Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya Turwomwe avuddeyo; “Wiiki ewedde ku Bbalaza nagenda ku Media Center okujjukiza abakozi ba Gavumenti akawaayiro ka Ssemateeka nti balina okwanjula ebyobugagga byabwe omwezi ogujja. Munnamawulire omu nambuuza kiki kyenkozeewo ku Sipiika. Ebyobugagga Anita Among byebagamba byalina e London, namuzeemu nti ekisooka Munnayuganda yenna waddembe okubeera n’ebyobugagga e London oba mu […]

Abasomesa abakubye omuyizi basindikiddwa ku alimanda
Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti y’e Ntungamo, Nassuuna Sharon asindise abasomesa 2 abalabikidde mu katambi nga bawewenyula omuyizi emiggo okukira abazikiriza omuliro ku alimanda okutuusa nga 4 March. Aneb Mwesigye 31, ne Twesigye Naboth 30 nga basomesa ku Standard College Rweshamaire bakwatiddwa ku katambi nga bakuba omuyizi owa S.2 Brain Akampa 16, nga bamulanga okutoloka […]

Nalukoola aweereddwa Kkaadi ya NUP
Ekibiina ki National Unity Platform kiwadde Munnamateeka Elias Luyimbaazi Nalukoola kkaadi akwatire ekibiina bendera mu kulonda anadda mu kifo kya Hon. Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates eyava mu bulamu bwensi ku ntandikwa y’omwka guno. #ffemmwemmweffe #FightHardMrUpdate #kawempenorth

Ani anaweebwa Kkaadi ya NUP e Kawempe
Olwaleero ekibiina ki National Unity Platform lwekigenda okulangirira ku bantu 10 abesowolayo okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky’Omubaka wa Kawempe North. Ku bano kuliko; Munnamateeka Elias Luyimbaazi Nalukoola, Magala Umar, Mathias Mulumba, Nsereko Moses, Kakiika Fredrick, Dr. Charles Rubagumya, Eng. Ssenkungu Kenneth, Sserunkuuma Salim, Luwemba Luswa Muhammad ne Kulya Saulo Ziwa. Olowooza ani anaweebwa kkaadi? […]

Abe Bwaise bakyalidde ku mubaka waabwe omukyala
Olunaku lweggulo abantu abenjawulo okuva mu Industrial Area e Bwaise bakyalidde ku mubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende olumbe gwerukyabala embiriizi. Bano bamusaasidde era ne bamusabira Mungu amusuuse. #ffemmwemmweffe

Palamenti esunsudde abalondeddwa okukulira BOU
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa okusunsula abantu ababa balondeddwa Pulezidenti aka Parliament Appointments Committee nga kakubirizibwa Sipiika Anitah Annet Among olwaleero kasusundde abalondeddwa ku kifo kya Gavana wa bbanka enkulu Dr Micheal Ating-Ego wamu n’omumyuuka we Prof.Augustus Nuwagaba. Bya Barbara Nabukenya #ffemmwemmweffe

Atingi-Ego alondeddwa ku bwa Gavana bwa BOU
Micheal Atingi-Ego alondeddwa okubeera Gavana wa Bbanka Enkulu eya Uganda, ye Augustus Nuwagaba alondeddwa okubeera omumyuuka we. Atingi-Ego yabadde akola nga omumyuuka wa Gavuna. Michael Atingi-Ego has been appointed as the new Governor of the Bank of Uganda, while Augustus Nuwagaba has been named the new Deputy Governor. Atingi-Ego has previously been serving as the […]

Aba PLU twabakirizza okwekalakaasa – Kituuma
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nti okwekalakaasa kwa Bannakisinde kya PLU okugenda ku Palalamenti kwakiriziddwa Poliisi oluvannyuma lwokuteekayo okusaba kwabwe mu budde okwawukana ku Bannabyabufuzi abalala. Police Spokesperson Kituuma Rusoke has said that PLU’d March to Parliament was granted permission, after submitting the request in time, which is opposite to other […]