Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya tinta tinta ku abiri mu ettaano ffena tweyiwe ku Summer Gardens Mukono nga 6122026 fayinolo News: Abantu 2 bga kuliko Omusirikale wa Uganda Police Force wamu nomusomesa basimbiddwa mu Kkooti yOmulamuzi etuula e Kanyanya nebavunaanibwa omusango News: Ekibiina ki National Unity Platform kitegese okujjukira Bannakibiina abatirimbulwa abebyokwerinda mu kwekalakaasa okwaliwo wakati wa 18 ne 19
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 486 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Wabwire yakirizza okutta Omuyindi era teyejjusa – Fred Enanga

May 16, 2023 · Mubiru Ali
Omusirikale wa Uganda Police Force Police Constable Ivan Wabwire avunaanibwa ogwokutta omuwozi w’ensimbi mu Kampala olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi nakirizza okutta Munnansi wa Buyindi nga agamba nti yali amulanga kumunyaga nga amubala omufuulo nti era tayejjusa kukikola.
Wabwire yakwatiddwa Busia nga agezaako okufuluma Eggwanga okwolekera Kenya yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road okukola extra-judicial statement eyekuusa ku butemu. Oluvannyuma Wabwire yaziddwayo mu CPS.
Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga yategeezezza nti kwo okwekebejja okusooka okwakoleddwa Omusawo wa Poliisi ku Wabwire bakizudde nti talina buzibu bwonna ku bwongo wabula yategeezezza nti ono agenda kwongera okwekebegyebwa psychiatric alabe entegeera ye.
Enanga agamba nti mu 2020 Omuyindi Uttam Bhandari yawola Wabwire akakadde 1 nga kaliko amagoba ga mitwalo 32, nti wabula yali tanazimalayo, yaddayo neyewola era akakadde 1 nga amagoba gegamu, nti era weyamutidde yabadde yakazzaayo ssente za myezi 3 gyokka.
Okusinziira ku kunoonyereza kulaga nti wiiki ewedde Wabwire yagenda ku Offiisi za TFS Financial Services ku Raja Chambers okumanya ssente meka ezimubangibwa nebamugamba nti abagibwa 2,130,000/= ye zagamba nti zaali nnyingi nasalawo okutta Director.