Tag: nup

Munnakibiina kya NUP abuziddwawo

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga akulira ebigenda ku mutimbagano mu Kibiina kya NUP Swaburah Ow'omukisa bweyawambiddwa abasajja ababadde babagalidde emigemerawala olunaku lw'eggulo mu ttuntu okuliraana amaka ge nga negyebuli eno tanamanyikako mayitire.

Abavubuka musaanye mubeere n’omulamwa – H.E Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform - NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ategeezezza nti buli mujiji gusaanye okuzuula omulamwa gwagwo era bafube nnyo okulaba nti baguteeka mu nkola. Okwogera bino Kyagulanyi abadde ku kitebe ky'ekibiina e Makerere, Kavule mu lukuŋŋaana lw'Abavubuka…

Abawagizi ba NUP 28 batabukidde mu Kkooti y’amaggye

Abawagizi b'ekibiina kya National Unity Platform 28 abatanayimbulwa olunaku lw'eggulo bavudde mu mbeera mu Kkooti y'Amaggye oluvannyuma lwa Kkooti okubaggulako omusango omulala ogw'okulya mu nsi yaabwe olukwe, bano Kkooti yalagidde baddizibweyo ku alimanda wabula nga teraze ddi lwebagenda kutandika kuwozesebwa.

NUP ekoze enongosereza mu Ssemateeka waayo

Ekibiina kya National Unity Platform - NUP kikoze enongosereza mu Ssemateeka waakyo okuteekawo ekkomo ku bisanja omuntu byalina okukomako ku kifo ky'Omubaka wa Palamenti wamu n'Abakulembeze abalala mu kibiina ku bisanja 2 eby'emyaka 5 buli kimu nga kitandika kisanja ekijja. Enongosereza eno…