Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Balaam Barugahara Ateenyi alidde matereke nomukulu wessomero. News: Besigye ne Lukwago singa bafa, NUP yeriba ebasse! NUP academy ya PLU! Nameere yatintimye nnyo alimba News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya tuyingidde ddimansi eyokusatu ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga basiitaana nebibuuzo ebinyuvu
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 208 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Muyimbule mutabani wange talina musango – Maama wa Wandera

February 18, 2024 · Mubiru Ali

Maama wa Ibrahim Wandera, omu ku bawagizi b’Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine abakwatibwa yayozezza ku munnye bweyabadde asaba Gavumenti okuyimbula mutabani we.
Wandera y’omu ku bawagizi ba NUP 32 abali mu kkomera nga bavunaanibwa omusango gwokusangibwa ne bbomu 13 ngabavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye e Makindye.
Bano bakwatibwa mu December 2020, wabula 4 ku banne ba Wandera bayimbulwa ku kakalu ka Kkooti mu April 2023 oluvannyuma Gavumenti nebaggulako emisango emirala egyokulya mu Nsi yaabwe olukwe.
Bwebasigalayo 28 bagezezaako okusaba okweyimirirwa wabula nebagaanibwa nga Gavumenti egamba nti abantu bebaleese okubeyimirira tebalina bisaanyizo. Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa November 2020 ne May 12, 2021, mu bitundu ebyenjawulo nga; Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Nateete ne Kampala Central, abavunaanibwa basangibwa ne bbomu enkolerere 13 nga bino birina kubeera nababyakwerinda.
Wandera yali muvuzi wa sipensulo mu kaseera webamukwatira mu Kibuga Mbale gyeyali akolera.