Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Balaam Barugahara Ateenyi alidde matereke nomukulu wessomero. News: Besigye ne Lukwago singa bafa, NUP yeriba ebasse! NUP academy ya PLU! Nameere yatintimye nnyo alimba News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya tuyingidde ddimansi eyokusatu ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga basiitaana nebibuuzo ebinyuvu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 233 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Okudda kwa Kyagulanyi kwalina makulu ki? – Gen. Muhoozi

October 17, 2023 · Mubiru Ali
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi, avuddeyo neyebuuza lwaki Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwaba nga teyalina kigendererwa ky’amaanyi yavaayo nalangirira nnyo okudda kwe mu Ggwanga era natuuka n’okukunga abantu so nga tewaali kyamaanyi mu lugendo lwe!
Ono akakasizza Eggwanga nti Gavumenti yakugenda mu maaso n’okulwanirira eddembe lya Bannayuganda nga bwebadde ekola wamu n’obukulembeze obugoberera amateeka okusobozesa buli Munnayuganda okweyagalira mu Ggwanga nga tewali kutiisibwatiisibwa kwonna.