Poliisi ezudde emmundu eyakozesebwa okutta Mukisa Ronnie

Uganda Police Force evuddeyo nefulumya ekiwandiiko kukuttibwa kwa Clerk Mukisa Ronnie 43, eyali akola ne IBC Advocates netegeeza ngabantu 4 bwebakwatiddwa okuli; Karedou Robert Irama, Mukyala we Nalwoga Brenda Cathy, Cpl Anyuse Max Geoffrey, omusirikale w’eggye lya @UPDF eyadduka e DRC neyefuula omukuumi wa Karedou, ne SP Irama Vincent, omusirikale wa Poliise akolera mu KMP North.
Okusinziira ku bujulizi obwakakuŋŋaanyizibwa bulaga nti Mukisa ne Karedou Robert wamu ne mukyala we Nalwoga Brenda, baali bamanyiganye bulungi nti wabula bafunamu obutakaanya mu bizineesi zaabwe. Karedou ne Nalwoga bagamba nti Mukisa yabba ssente zaabwe akakadde ka ddoola 1, bwebatyo nebategeezaako mukwano gwabwe SP Irama Vincent era bonna wamu bafuna Cpl Anyuse Max, okubattira Mukisa.
Nga 30-May, Anyuse yafune emmundu gyeyadduka nayo okuva e DRC nagoberera Mukisa eyali atambulira mu motoka ye ekika kya Subaru legacy, nnamba UBJ 006K, dark blue, okutuuka mu maka ge e Kitoko-Birongo, Ndejje Division. Yamukuba amasasi 4, bweyali asembera okuggalawo ggeeti emirundi ebiri era nafiirawo.
Anyuse bweyali ava mu kifo weyattira Mukisa, yakubira Nalwoga essimu namutegeeza nti yali amalirizza omulimu.
Abebyokwerinda basooka kukwata Karedou, mukyala we Nalwoga ne Cpl Anyuse, okuva mu maka ga Karedou mu Kasana LC I, Kulambiro. Bwebafuuza amaka gano bazuula magaziini z’emmundu ekika kya AK47 2 nga mulimu amasasi 52, ebyambalo by’amaggye n’ebirala.
Poliisi egamba nti yadde nga mukukunya Cpl Anyuse okwasooka yategeeza nti yakozesa mmundu ya SP Irama, okutta Mukisa wabula yekyuusizza nabatwala awali emmundu gyeyakozesa ngeno gyeyadduka nayo okuva e DRC. Eno yasangiddwa emabega wa Boys Quaters z’ennyumba ezipangisibwa e Kitiko-Birongo, ngezingiddwa mu kaveera. Ono akakasizza nti omusirikale wa Poliisi, SP Irama Vincent, yeyakubiriza olukiiko olwategeka okutta Mukisa.
SP Irama yakwatiddwa okuva ku Poliisi e Kawembe era bwebakebeddwa awaka we baggyeeyo basitoola eyamuweebwa ku mulimu wamu n’emmundu ekika kya AK47 ngerimu amasasi 30.
Amasasi 2 gabadde gakateekebwamu. Emmundu zombi ziweereddwayo okwekebejjebwa abakugu. Emmundu endala ezuuliddwa olwaleero nga 12.06.2023.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sap Monday🔥🔥🔥 Yeffe Yeffe Abakola Ku Simba Wadde nga Nga tetubisaana 😂😂 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Bakodomi Baffe .
#RadioSimba973
Sureman Ssegawa 
#MugirikoMugiriko

Sap Monday🔥🔥🔥 Yeffe Yeffe Abakola Ku Simba Wadde nga Nga tetubisaana 😂😂 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Bakodomi Baffe .
#RadioSimba973
Sureman Ssegawa
#MugirikoMugiriko
...

0 0 instagram icon
Ibrahim Musana aka Pressure 247 tik -toker eyateekayo obutambi ngavuma Kabaka n'abakulu mu Gavumenti abalala ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo oluvannyuma lwokuleeta ba Ssenga be 2 nga abamweyimiridde.
Musana agaaniddwa okuddamu okukozesa olulimi oluvuma nga bwatakikole okweyimirirwa kwe kwakusazibwamu.
Bya Christine Nabatanzi

Ibrahim Musana aka Pressure 247 tik -toker eyateekayo obutambi ngavuma Kabaka n`abakulu mu Gavumenti abalala ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo oluvannyuma lwokuleeta ba Ssenga be 2 nga abamweyimiridde.
Musana agaaniddwa okuddamu okukozesa olulimi oluvuma nga bwatakikole okweyimirirwa kwe kwakusazibwamu.
Bya Christine Nabatanzi
...

3 0 instagram icon
Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers' Tournament.

Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers` Tournament. ...

62 3 instagram icon
Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute!

Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute! ...

0 0 instagram icon