Poliisi esse ababbi babiri omu nadduka

Poliisi e Matugga yayanukudde mangu nnyo okutaasa Omusirikale w’ekitongole ekikuuma ddembe ekya PSG Security eyabadde alwanagana n’ababbi basatu ababadde bagezaako okumenya Hardware ya Kiwa Hardware Shop esangibwa ku luguudo lwa Ssemuto – Matugga. Poliisi weyatuukidde mu kifo kino yasanze obubbi bukyagenda mu maaso nga ebintu ebiwerako bimaze okutikibwa mu motoka, ababbi bwebalabye Poliisi batandise okuwanyisiganya amasasi ne Poliisi era mukavuvungano ako babiri ku babbi bakubiddwa amasasi agabatiddewo ate omu nadduka n’ebisago ebyamaanyi.Poliisi yasobodde okununula ensawo 20 eza sseminti, n’amasasi 32 era nga okunoonya omu eyadduse n’ebisago. Kigambibwa nti bakozeseza omukisa nga bapaakinze emotoka yaabwe ku mulyango gwa Hardware nebasala ekkufulu nebayingira munda. Emotoka ekika kya Canter nnamba UAM 668Q eyabadde ekozesebwa yatwaliddwa ku Poliisi e Matugga.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Ennyonyi ekika kya nnamunkanga ngebaddemu omukulembeze wa Iran egudde. Okusinziira ku mukutu gw'Amawulire ogweggwanga Pulezidenti Ebrahim Raisi abadde ku nnyonyi eno, ngabaddeko ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'ebweru Hossein Amirabdollahian. Minisita wensonga zomunda ategeezezza nti abaduukirize babadde bakyagezaako okutuuka mu kifo wefunidde akabenje, wabula nga tebanakakasa oba abagibadde bafudde.
Ebisingako awo birindirire mu mawulire gaffe.

Ennyonyi ekika kya nnamunkanga ngebaddemu omukulembeze wa Iran egudde. Okusinziira ku mukutu gw`Amawulire ogweggwanga Pulezidenti Ebrahim Raisi abadde ku nnyonyi eno, ngabaddeko ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z`ebweru Hossein Amirabdollahian. Minisita wensonga zomunda ategeezezza nti abaduukirize babadde bakyagezaako okutuuka mu kifo wefunidde akabenje, wabula nga tebanakakasa oba abagibadde bafudde.
Ebisingako awo birindirire mu mawulire gaffe.
...

19 2 instagram icon
Manchester City bebanantameggwa ba English Premier League 2023/24 ngabawangudde ekikopo kyabwe ekyokuna ekyomuddiringanwa.

Manchester City bebanantameggwa ba English Premier League 2023/24 ngabawangudde ekikopo kyabwe ekyokuna ekyomuddiringanwa. ...

8 0 instagram icon
Olwaleero lwerusalawo ani yani mu liigi ya Bungereza, enaaba Arsenal oba Manchester City?! Osuubira kkirabu ki egenda okuwangula ekikopo kya Premier League olwaleero? Hassan Kazibwe Ssaava Omukambodiya wa Ssaabasajja, Abu Diaby Munnayuganda, Sureman Ssegawa ne Ssentebe Bruce Omutabbizi webali nnyo okusunsula ensonga.

Olwaleero lwerusalawo ani yani mu liigi ya Bungereza, enaaba Arsenal oba Manchester City?! Osuubira kkirabu ki egenda okuwangula ekikopo kya Premier League olwaleero? Hassan Kazibwe Ssaava Omukambodiya wa Ssaabasajja, Abu Diaby Munnayuganda, Sureman Ssegawa ne Ssentebe Bruce Omutabbizi webali nnyo okusunsula ensonga. ...

2 0 instagram icon
Ekibiina kya National Unity Platform kifulumizza enteekateeka yokuddamu okutalaaga Eggwanga ekitundu ekyokubiri.

Ekibiina kya National Unity Platform kifulumizza enteekateeka yokuddamu okutalaaga Eggwanga ekitundu ekyokubiri. ...

4 0 instagram icon
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; "Twandibadde tetulwana ku nsonga nga zino, tulina okwewa ekitiibwa kuba ffenna omulabe waffe ye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.  Nkozesa omukono ogumu okulwanyisa nakyemalira ate omulala kulwana na baganda bange mu kibiina abalwana okulaba nti balemesa omulamwa gwaffe ogwokulwamyisa nakyemalira. Simanyi bbanga ki lyenawangaala naye munsabire."

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; "Twandibadde tetulwana ku nsonga nga zino, tulina okwewa ekitiibwa kuba ffenna omulabe waffe ye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Nkozesa omukono ogumu okulwanyisa nakyemalira ate omulala kulwana na baganda bange mu kibiina abalwana okulaba nti balemesa omulamwa gwaffe ogwokulwamyisa nakyemalira. Simanyi bbanga ki lyenawangaala naye munsabire." ...

6 1 instagram icon