Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 189 listening Simba FM Live
Sports

Ogwa KCCA FC ne Onduparaka FC gwakudibwamu

February 1, 2022 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Akakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) akajulirwamu aka FUFA Appeals Committee kasazeewo kukujulira kwa kkiraabu ya KCCA FC ngewakanya ekyasalibwawo Akakiiko akakwasisa empisa aka Competitions Disciplinary Panel okuddamu okusaba omupiira gwaayo ne ONDUPARAKA FOOTBALL CLUB ogwayiika.
Akakiiko kagamba nti KCCA FC yalemereddwa okuleeta obujulizi obumala okumatiza akakiiko okukyuusa ekyasalibwawo Competitions Disciplinary Panel. Nabwekityo okujulira kwa KCCA FC tekwayiseemu nekisigala nti omupiira gwakuddibwamu.