Kitalo!
Ludwin Florez 27, nga abadde musambi wa ttiimu ya Los Rangers mu Sullana Province mu North West Peru afudde oluvannyuma lw’okunywa amazzi nga yakava ku kisaawe okusamba omupiira.
Mukyalawe agamba nti Ludwin yavudde ku kisaawe nga awulira ennyonta namusaba amazzi wabula yabadde yakamala okuganywa namugamba nti awulira obulumi mu kifuba namuddusa mu kalwaliro akali okumpi wabula nafiira mukubo.
Omusawo agamba nti ono yafunye ekizibu ky’omutima oluvannyuma lw’okunywa amazzi amangi nga ganyogoga nga ate omubiri gwe gukyabuguma.
Menu