Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Police Constable Ivan Wabwire, eyakubye omuwozi w’ensimbi amasasi olunaku lw’eggulo bweyali yawerebwa okukwata ku mmundu okumala emyaka 6 olwobuzibu bwobulwadde ku bwongo era nga abadde aweebwa emirimu egitetaagisa kubeera na mmundu nga n’olunaku lweyakubye omuyindi essasi yabbye ku munne emmundu bwebabadde basula Steven Mulambo eyabadde yakoze ekiro wabula nadda awaka n’emmundu awummulemu, oluvannyuma eyafunye akasimu nga bamutegeeza ng’omwana we bwali omulwadde naleka emmundu mu nnyumba ekyawadde Wabwire akakisa nagibbawo.
Mulambo yakwatiddwa nga kati akuumirwa Kireka.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.