Bannakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC okuli ne Ssentebe w’ekibiina mu Disitulikiti y’e Busia ababadde batuuse e Busaabala awabadde walina okubeera ttabamiruka w’ekibiina eyayitiddwa Ssentebe Amb. Waswa Biriggwa balumbiddwa ekibinja ky’abavubuka bakawuula ababadde batambulira mu drone ne babakuba bubi nnyo. Bano balumiriza Ssaabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala – Mafabi okusindika agavubuka gano.