Tulinda Airtel okutuwa emboozi eziri ku ssimu zabakwate ne Ssebulime – Enanga

Omwogezi wa Poliisi Mu Ggwanga Fred Enanga yavuddeyo nategeeza Bannamawulire nti abatuuze be Nagojje baabula okugajambula omusirikale wa Poliisi CPL Edward Ssali eyakuba Ssebulime amasasi agamuttirawo bweyali atwaliddwa mu kifo weyakubira Ssebulime amasasi nga bagezaako okukola okunoonyereza.
Enanga agamba nti abasatu ku bakwatibwa batwaliddwa nebakeberebwa obwongo era nekizuulibwa nti balamu bulungi tebalina buzibu bwonna.
Enanga yagambye nti basaba dda Kkampuni z’amasimu okuli MTN ne Airtel okubawa emboozi eziri ku masimu gabakwate wamu ne y’omugenzi Ssebulime wabula nga Kkampuni emu yokka eya MTN yeyabawadde nga balindirira eya Airtel, era nga n’emmundu abasirikale ze balina olunaku olwo zamala dda okwekebejjebwa.

Leave a Reply