Ttanka za Reserve e Jinja temuli mafuta – DM Nkangi

Uganda National Oil Company Limited – UNOC Depot Manager Joel Nkangi avuddeyo nategeeza nga ttanka zino ezateekebwawo okuterekera eggwanga amafuta bweziri enkalu.
Kino wekigidde nga eggwanga liri mu kattu ke bbula ly’amafuta nga liita mu Kampala eya petulooli etundibwa wakati w’enussu 6000/= so nga ku masundiro agali ebweru wa Kampala eri ku 10,000/=.
Nkangi agamba nti ttanka zino zirina obusobozi obutereka liita obukadde 30 obw’amafuta wabula nga buli mwezi eggwanga lyetaaga wakati wa liita obukadde 200 – 230. Ono agamba nti amafuta gebaalina gali gasobola okuyimirizaawo eggwanga okumala wiiki emu yokka singa wabaawa ebbula ly’amafuta.
Ono agamba nti amafuta okubeera mu ttanka zino kwesigama ku ggwanga okusigala nga lifuna amafuta era singa gabulamu nazo ziba zikalira.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply