tewali nnono egaana bawala kusamba mupiira – Kattikiro

Katikkiro yabadde Omugenyi omukulu mu Musomo gw’okubaganya ebirowoozo ku nkulaakulanya y’omupiira gw’abakyala mu ggwanga ogutegekeddwa ekibiina kya Sseninde Foundation, ekikulirwa Jean Sseninde omuwala munnayuganda omusambi w’omupiira mu tiimu ya Queens Park Rangers mu Bungereza ate nga muwala wa Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza Rosemary Sseninde.
Omusomo gubadde ku wooteri ya Macknon Suites mu Kampala.
Katikkiro agambye nti tewali nnono egaana bawala kusamba mupiira era tujja kusigala nga tugissaamu ekitiibwa era abakyala bajja kusigala nga be bannakazadde b’eggwanga. Asabye bonna abatendeka abawala okusamba omupiira okunnyikiza n’okubatendeka nti be bannakazadde b’eggwanga.
Agasseeko nti abakyala balina omukono gw’amaanyi mu nteekateeka y’enkulaakulana yonna, era bwebabulamu, enkulaakulana ebeera nzibu.
Mu balala abakubaganyizza ebirowoozo kuliko; Kiryowa Kiwanuka, Ssentebe wa Express FC, Patrick Kanyomozi, President w’ekibiina ekitaba bannamawulire abasaka ag’emizannyo, Jackie Tahakanizibwa, kitunzi wa Post Bank, ne Ayuba Kisaaliita, omutendesi w’omupiira gw’abakyala mu ggwanga.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
16 ogwokubiri lunaku lwa Archbishop Janani Luwum, lwa kuwummula.