Simeo Nsubuga eky’okumugwa mu malaka akitadde ku babaka baaludda luvuganya Gavumeti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Simeo Nsubuga, omubaka mu Palamenti owa Kassanda ey’amaserengeta  akukkulumidde ababaka mu Palamenti abali ku ludda oluwakanya Gavumenti nti beebaabadde emabega wa Kyumakyayesu omusajja ayamugudde mu malaka  ku mukolo gw’amatikkira ga Ssaabasajja e Buwekula.

Simeo abadde mu lutuula lwa Palamenti emisana gya leero n’anyumiza Palamenti ekyamutuuseeko eggulo ku bbalaza bweyalumbiddwa omusajja William Ntege eyakazibwako erya Kyumakyayesu n’amugwa mu malaka ng’amulanga gwa ku kulemberamu kuwagira kya kuggya kkomo ku myaka gya Pulezidenti , baamumutaasizzaako butaasa.

Nsubuga akiikidde ensigo ababaka ab’oludda oluvuganya Gavumenti abali mu kutalaaga ebitundu by’eggwanga  ebitali bimu okufuna ebirowoozo by’abalonzi ku bbago ly’eteeka ly’ettaka erya 2017. Agamba nti bano mu kifo ky’okuteeka obwongo ku bikulu ebiri mu bbago lino, ate bo bagenda bakuma omuliro mu bantu ku ye wamu ne banne bwebawagira eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga .

Share.

Leave A Reply