Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 254 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Pulezidenti wa UNF Babirye Kityo Sarah asindikiddwa ku alimanda

May 16, 2023 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Siena Owomugisha yasindise ku alimanda Pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF), Babirye Kityo Sarah ku alimanda mu Kkomera e Luzira ku bigambibwa nti alina beyagyako ssente mu lukujjukujju.
Babirye ne Zainab Namutebi basimbiddwa mu Kkooti ku bigambibwa nti baggya ssente obukadde 16 ku bantu nga babasuubizza okutwala abaana baabwe mu Amerika.
Kkooti yategeezeddwa nti Namutebi ne Babirye n’abalala abakyanoonyezebwa mu mwezi gwa May 2022 baggya ssente obukadde 8 ku Sarah Wamala nga bamulimbye nti bagenda kutwala mutabani we mu Amerika kyebatakola.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu kaseera kekamu ako era mu kifo kyekimu baggya ssente ku Gloria Kikomeko Nantambi obukadde 8 nga bamulimbye okumutwala mu Amerika. Bano bombi emisango bagyegaanye era nebasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 17-May okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Bino webigidde nga Babirye eyaliko Omubaka akiikirira Abavubuka owa Masekkati ali ku luwummula olwobuwaze nga Pulezidenti wa UNF okusobozesa akakiiko akenjawulo akatekeddwawo Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni okunoonyereza ku kukozesa obubi offisi. Ekiragiro kyatadde Brig. Flavia Byekwaso mu ntebe nga Pulezidenti wa UNF ow’ekiseera.