Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Pulezidenti Museveni yasaba Salary Advance mu 2016

Abakungu okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga bavuddeyo nebategeeza akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’ensimbi aka Public Accounts Committee nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni beyavaayo nasaba ‘Salary Advance’ yabukadde 19 mu emitwalo 10 era nebawalirizibwa okuzijja ku budget y’omwaka 2016-2017.
 
Mu mwaka ogwo, offiisi ya Pulezidenti yafuna obuwumbi 126 wabula nekozesaako obuwumbi 125 era nga ezafikkawo akawumbi 1 kazibbwayo.
Bongedde nebateegeza nti ensimbi ku zino ezazibbwayo zakomezebwawo Pulezidenti Museveni kwezo zeyali asabye ku ‘Salary Advance’. Ensimbi endala zaava ku bantu abaggibwa ku lukalala lwa ‘State House’ nga baali basasulwa wabula nga tebaliiyo.
 
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni afuna omusaala gwabukadde busatu mu emitwalo nkaaga (3.6M). Wabula omubaka wa Maruzi County MP Maxwell Akora avuddeyo neyewuunya oba nga mu mateeka omukozi wa Gavumenti akirizibwa okufuna ‘Salary Advance’ esukka mu myezi 5 wabula abakungu okuva mu State House nebategeeza nti Pulezidenti gwegwali omulundi gwe ogusooka okugisaba.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort