PULEZIDENTI MUSEVENI ALAGIDDE URA EWE BOBI WINE EMOTOKA YE

Pinterest LinkedIn Tumblr +
https://youtu.be/QKz-NssZ88A
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga kivuddeyo nekiwa omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine emotoka ye etayitamu masasi olwaleero.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandiikiddwa Commissioner General wa URA John Musinguzi Rujoki agamba nti bafunye ekiragiro okuva eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngabalagira okuwa Bobi Wine emotoka ye.
Musinguzi agamba nti okuva lwekiri nti Bobi Wine yasaba baddemu okwekeneenya omusolo guno ebbanja lyobukadde 240 likyamubanjibwa nti era alina okulisasula wabula nti ssente entuufu zalina okusasula zakumutegeezebwa nga bamaze okuddamu okwekeneenya emisolo gyabali bagitaddeko.
Mukwogerako eri Bannamawulire Hon. Kyagulanyi agambye nti ekikolwa Pulezidenti Museveni kyakoze okualgira URA kyoleka lwatu nti ebitongole bya Gavumenti bingi tebikyalina buyinza bikolera ku biragiro.
Bobi agamba nti ebbaluwa yaabwe eraga nti alina omusolo ogumubangibwa gwalina okusasula, kati lwaki bagimuwadde nga tanasasula musolo guno. Agamba nti kino bandiba nga bakikoze nga bagezaako okubawugula kukusaba okuteebwa kwabanaabwe abali mu kkomera e Kitalya. Bobi Wine agambye nti bagenda kuleeta abakugu okwekubejja emotoka eno nga tanaddamu kugikozesa, nti era Pulezidenti Museveni talina kyabagamba ku motoka eno kuba tagirinaako yadde ennusu.
Share.

Leave A Reply