Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi mu Kampala ekutte atambuza enjaga

Mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa munaana (2:00am) Poliisi mu Kampala ekutte Babigambe William (27) nga akukusa enjaga.

Omukwate omutuuze we mutungo zone 4 Poliisi emuyimirizza ku luguudo lwa Kampala Road bwabadde avuga pikiki eyekika kya Bajaj Boxer emyuufu nnamba UEL 023U nga ataddeko ensawo nnamba ey’enjaga.

Ono tamalidde poliisi budde, olumukutte n’akiriza nti bulijjo ekyokukusa ebiragalalagala yagufuula mulimu era nti ayina n’amasamba gebiragalalagala bino e Mpambire ekisangibwa ku nkingizi z’e Kampala ku ludda e Masaka.

Ono Poliisi agitegeezezza nti ba kasitoma abamugulako enjaga eno bali mu bitundu nga Luzira, Kitintale, Kasokoso, Kirinnya ne Mutungo.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort