POLIISI EWAKANYIZZA EBYA ISIS KU BYA BBOMU E KOMAMBOGA

Omukutu gw’amawulire ogwa Reuters guvuddeyo negutegeeza nga Islamic State bweyavuddeyo neyewaana nga bweyawomye omutwe mu bulumbaganyi bwa bbomu obwakoleddwa e Komamboga omuntu omu mweyafiiridde ku lwomukaaga. Okusinziira ku bubaka bwebatadde ku mukutu gwa Telegram ku Sunday, bano bagambye nti abamu ku ba mmemba baabwe batulisizza bbomu mu bbaala awabeera bambega ba Gavumenti ya Yuganda.
Bano bagamba nti bbomu eno yabaddemu emisumaali nebipapajjo ebirala.
Abas Byakagaba Director Counterterrorism mu Uganda Police Force agamba nti Poliisi kino tenakikakasa wadde nga bewaanye.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply