Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo wano e Bukoto ku Simba.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 144 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi e Najjeera ekutte abadde atulugunya omwana

September 19, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi mu bitundu by’e Najjera, yataasizza omwana ow’emyaka 6 agambibwa okuba nga yabadde atulugunyizibwa omu kubeŋŋanda ze oluvannyuma lw’okutemezebwako abatuuze.
Kigambibwa nti omwana ono abadde atulugunyizibwa omukyala Kakunda Penina 29 omutuuze w’e Buwaate.
Abatuuze bwebagezezzaako okugamba ku Penina yadduse neyesibira mu nnyumba ye ekyabajje mu mbeera nga baagala okumenya ennyumba bamugajambule Poliisi weyatuukidde nemusendasenda naggulawo ennyumba era nemukwata.
Ono akuumirwa ku Poliisi y’e Najjeera nga bwalindirira okutwalibwa mu Kkooti abitebye.