Poliisi e Mubende ekutte abantu musanvu ku bigambibwa nti benyigira mu kuwamba abantu

Adduumira police e Mubende Okoyo Martain ategezezza nti  omusaavu bano okukwatibwa kidiridde ebikolwa byo okuwamba abantu no okutiisatiisa okubawamba okweyongera ennyo e Mubende.

Mubakawambibwa kwe kuli omwana owe myaka 3 Kabugo Evelyn  gwe bawamba ku bakadde be ku kyalo Kkuminamukaaga nebabasaba obukadde 5 n’oluvannyuma ne bamusuula mu park ya taxi e Kasambya.

Okoyo agaseeko nti era kubakwate bano 7 kuliko nabadde atiisatiisa abasuubuzi okubawamba nga babasaba ensimbi eziri wakati w’obukadde 5 no 6 mu bitundu bya district ye Mubende okuli Mubende municipality ne gombolola ye Kasambya.

 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Temuggwamu ssuubi – Besigye