Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 536 listening Simba FM Live

Poliisi e Mityana ekutte omusirikale waayo eyezibika ensimbi z’omugenzi

April 26, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force e Mityana etutte offiisa waayo John Wabwire mu Kkooti lwakwezibika ensimbi obukadde 3 bweyajja mu nasawo y’omulambo. Wabwire nga musirikale ku Poliisi y’e Mityana kigambibwa nti mu August w’omwaka oguwedde yajja ssente mu nsawo y’omulambo gwa Yosam Mugisha nagaana okuzibalira mu lujudde nga agamba zakutwalibwa nga ekizibiti.