Police eyodde 3 ku bubbi bwa Bodaboda

Police mu Kampala egombyemu obwala abantu basatu nga mulimu n’omupoliisi ku bubbi bwa Bodaboda ne pikipiki obukudde ejjembe mu Kampala n’emiriraano.

Emilian  Kayima, omwogezi w’ekitongole kya Police agambye nti omuserikale James Ogwal abadde akolera ku Police y’e Kabalagala nga y’omu ku baakwatiddwa n’aggalirwa ku Police yooku Mawanda, ate oluvannyuma yeyimbyemu ogwa Kabugu n’akkirira e Kalannamo

Kayima era ategeezezza bannamawulire nti bano abaagombeddwamu obwala bakkirizza nti Pikipiki babadde bazibba nebazitunda mu bitundu by’e Amurata, Dokolo ne mu zi Disitulikiti endala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
akabenje kagudde ku Jinja nile bridge