Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

People Power muyaga temuwubisa bantu – Capt. Mike Mukula

Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM ow’ebuvanjuba Capt. Mike Mukula alumbye Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine era Munnakisinde kya People Power – Uganda nti kino ekisinde kye tekirina mulamwa wadde kyekiraga.
Mukula asekeredde Bannabyabufuzi abadduira eri ekisinde kya Bobi Kyagulanyi ekya People Power Our Power okufuna kkaadi nga agamba nti tekijja kubayamba yadde.
Ono atuuse n’okukerageranya ekisinde kino ku mwana akyamera amannyo nti era tekirina mirandira kuba bangi bagenda kugwa nakyo.
Ono agamba nti Bannabyabufuzi bangi nebwanafuna kkaadi yaakyo kigenda kukoma mu bigambo kuba bajja kufundikira nga mu Palamenti babalwa nga ba Independent.
Ono agamba nti Akakiiko k’ebyokulonda Electoral Commission Uganda kamanyi National Resistance Movement – NRM, Forum for Democratic Change – FDC, Democratic Party Uganda – DP, Uganda Peoples Congress – UPC ne JEEMA, People Power temanyiddwa wanti wonna.
Ono agamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alinga mbalaasi mpanguzi kuba kino akikoze ebbanga lyonna nga kyeyolese lwatu mu kaseera kano aka #COVID-19.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort