Owa booda booda agudde mu convoy ya Pulezidenti Museveni

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Olunaku olwaleero ku luguudo lwa Northern Bypass omuvuzi wa Booda booda agudde mu luseregende lw’emotoka za Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ye nabasaabaze be babiri ne balumizibwa byansusso.
Kigambibwa nti owa Booda booda abadde agezaako okuwagaanya mu motoka ezibadde zisibiddwa naggwa mu emu ku motoka za Pulezidenti. Bano baddusiddwa mu malwaliro agenjawulo okuli Mengo ne Mulago okufuna obujanjabi.
Omwogezi wa Special Forces Command – SFC, Maj Dennis Omwara akakasizza akabenje kano nategeeza balondoola embeera yabantu bano era nasuubiza nti bagenda kulaba nti bafuna obujanjabi era bakuyambako okubasasulira ebisale by’eddwaliro.
Ono asabye abagoba b’ebidduka okugondera ebiragiro naddala nga oluseregende lw’emotoka za Pulezidenti ziyitawo kuba mu mateeka zirina okusegulirwa wadde ngoli mu bwangu.
Share.

Leave A Reply