OMUYIZI ADDUKIRIDDE BAYIZI BANNE KU UCU

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Rachael Serwadda nga muyizi ku Ssetendekero wa Uganda Christian University nga asoma Bachelors of Laws aduukiridde bayizi banne nemmere wamu n’ebintu ebirala mu bisulo ebyenjawulo.
Mu bino mwabaddemu emiyembe, ennansi, watermelon nga agamba nti bino byabadde byetaagibwa nnyo okusobola okuzimba omubiri gusobole okulwanyisa eddwadde.
Sserwadda agamba nti yayogera nebazadde be nabateegeeza nti ayagala kuyamba mikwano gye egyasigala mu bisulo era nebamusuubiza okumuyamba nti era ebibala byeyagabye kitaawe yabikungudde mu ffaamu namugulira n’emmere.
Serwadda yabigabye mu Bisulu 21 era nga abayizi abawerera ddala 330 beyasobodde okugabira.
Share.

Leave A Reply