Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 577 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Omusomesa ayasobya ku muyizi e Makindye akwatiddwa

July 23, 2019 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Poliisi okuva mu kitongole kya Poliisi ekinoonyereza kukukabasanya wamu n’obutabanguka mu maka ku kitebe kya CID bakutte omusomesa Walugembe Jimmy 29, nga musomesa ku ssomero lya Springfield International School kubigambibwa nti yasobya ku muyizi ow’emyaka 8.
Kigambibwa nti omusomesa ono yasendasenda omwana ono namutwala mu kabuyonjo gyyamusoberezaako. Kigambibwa nti omwana yakebereddwa nekizuulibwa nga ebitundu bye eby’ekyaama byakosebwa.
Omukulu w’essomero Mutebi Moses naye yakwatiddwa Poliisi kubigambibwa nti yabikirira omusomesa ono, mamuleka mu ssomero okusigala nga asomesa ate nebatuuka n’okukola endagaano n’abazadde okubikirira omusango.