OMUSAMBI WOMUPIIRA AMAZE EMYAKA 39 MU COMMA AFUDDE

Kitalo!
Eyaliko omusambi wa Bufalansa Jean-Pierre Adams 73, afudde olvannyuma lw’emyaka 39 mu comma. Adams yatwalibwa mu ddwaliro okulongosebwa evviivi mu March 1982 wabula teyadda ngulu oluvannyuma lwokukola ensombi mu ddagala eryamukubwa okumusirisa. Adams nga nzaalwa y’e Senegal, yali muzibizi nga yasamba emipiira 140 nga asambira Nice era yasambirako ne Paris St-Germain.
Olunaku Adams lweyagenda okulongoosebwa abasawo abasinga mu Lyon baali bekalakaasizza wabula okulongoosebwa kwe kwagenda mu maaso ng’omusawo omu asirisa eyaliwo yali akola ku balwadde 8. Adams yasigala alondoolwa omusawo eyali akyasoma eyavaayo nategeeza nti yakwasibwa omulimu ogwali omunene gyali.
Wano nno wewava ensobi eziwerako ezakolebwa ekyaviirako omutima gwa Adams okwesiba wamu n’okufuna obuvune ku bwongo.
Omusawo n’omuyizi eyali atendekebwa mu gye kyenda webavunanibwa nebaweebwa ekibonerezo kyakuyimirizibwa ku mulimu okumala omwezi gumu wamu n’engasi ya Euro 750.
Adams yaggibwa mu ddwaliro oluvannyuma lw’emyaka 15 nga abadde alabirirwa Mukyala we Bernadette Adams mu maka gaabwe e Nimes.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply