OMULAMUZI AKWATIDDWA LWAKUGIRAYO BANTU MMUNDU

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Chief Magistrate wa Kkooti y’e Kapchorwa Brince Teko Lokeris akwatiddwa Uganda Police Force naggalirwa kubigambibwa nti yaggiddeyo ba kizibwe be emmundu mu wooteeri emu e Moroto Municipality.
Poliisi egamba nti ono wakuggulwako musango gwakugezaako okutta omuntu wamu n’okulumya abalala. Emmundu ekika kya basitoola gyeyasangiddwa nayo yatwaliddwa nga ekizibiti.
Kigambibwa nti Omulamuzi Lokeris yagenze ku Moroto Hotel nebakizibwebe 4 okunywamu ku ssaawa bbiri n’essatu ez’ekiro ku lwomukaaga nebafunamu obutakkaanya. Kigambibwa nti Lokeris yasituse nakuba bakizibwe be ebikonde.
Bakizibwe be basabye obuyambi era ekyabataasizza nti wabaddewo omusirikale wa UPDF n’omukuumi wadduumira ISO ababadde basuze ku woteeri eno bebabataasizza.
Lokeris yabadde agenze e Moroto okuziika jjajaawe Loyce Natiiwi, eyaziikibwa ku kyalo Naitakwai mu kibuga Moroto.
Yateereddwa ku kakalu ka Poliisi.
Share.

Leave A Reply