Omulambo gwa Munnayuganda eyattirwa e Rwanda guziddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Olunaku olwaleero abakungu okuva mu Gavumenti ya Rwanda bakwasizza abakungu ba Yuganda omulambo gwa Munnayuganda Sydney Muhereza eyakuba amasasi agamuttirawo ku bbalaza ekiro ya wiiki ewedde mu Rwanda kiromita 5 okuva ku nsalo ya Yuganda ne Rwanda mu ttawuni y’e Kumugu mu Disitulikiti y’e Musanze.
Muhereza yali mutuuze ku kyalo Kahogo mu Ggombolola y’e Butanda mu Disitulikiti y’e Kabale.
Meeya w’e Burera Marie Chantal Uwanyirigira akiikiridde Gavumenti ya Rwanda ategeezezza nga Muhereza bweyagezaako okulwanyisa abasirikale nti era yalina n’ejjambiya.

Share.

Leave A Reply