Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Omukazi atuze omwana wa mujja we e Mukono

Kitalo!
Omukazi ow’ettima e Kiwanga, Kasokoso mu Disitulikiti y’e Mukono akakanye ku mwana wa mujja we ow’emyaka 11 namuggwa mu bulago namutta.
Sarah Morata ow’emyaka 39, yakakanye ku mwana Gideon namutta. Kigambibwa nti omukyala ono oluvannyuma lwokukola ekikolwa kino ayise owa booda booda ategeerekeseeko erya John okujja abatwale mu ddwaliro nti Gideon muyi nnyo.
Wabula John atemezza ku b’obuyinza oluvannyuma lwokwekengera engeri gyamusanzeemu wamu n’oluvannyuma lw’omukyala ono okumugaana okumusitulirako omwana asobole okumutuusa ku piki piki. John agamba nti ayongedde okwekwekengera omukyala ono bwamugaanye okubuulira abantu era namutegeeza nga omwana bwaseeredde naggwa mu kinaabiro.
Omukyala ono awaka abadde abeerawo n’abaana wamu n’omukozi amuyambako ku mirimu kuba bba akola ssaffaali.
Ye Nesiime Stella nga ye mukozi wawaka agamba nti bino byonna webibeereddewo abadde agenze ku dduuka mukama we gyabadde amutumye butto. Ono agamba nti Gideon abadde mulamu era nga bwategedde nti bamututte mu Ddwaliro adduse mangu okutuukawo, era bwatuusewo bamulagidde akime amasuuka era bwagaleese negamugamba addeyo awaka era abadde ali awo nebaleeta omulambo wabula mukama we namugaana okwogera.
Bya Dalton Yiga

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort