Ogwa Ssegiriinya ne Ssewanyana gwongezeddwayo okutuusa nga 5-Jan

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform Ssegiriinya Muhammad ne Ssewanyana Allan basinzidde mukkomera e Kigo nebaddamu okulajanira Kkooti ebayambe ewandiikire ekkomera gyebali basobole okufuna obujanjabi.
Ababaka bano basinzidde kunkola eya zoom nebategeeza Omulamuzi wa Kkooti ento e Masaka Nantege Christine nti wade bali mumbeera mbi naye ekkomera lyagaana okubakiriza okufuna obujanjabi.
Wabula omulamuzi Nantege agambye nti abasibe bano balina eddembe okufuna obujanjabi era bwatyo naddamu okulagira abamakomera babatwale bafune obujanjabi
Omusango oguvunaanibwa ababaka bano ogw’obutemu tegusobodde kugenda mumaaso oluvanyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard obutalabikako mu Kkooti olwaleero. Omulamuzi Nantege ayongezaayo okuwulira omusango okutuusa nga 5/Jan/2022.
Bya; Maggie Kayondo
Share.

Leave A Reply