Obubenje butuze basatu e Iganga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga mu bubenje obw’enjawulo mu Disitulikiti y’e Iganga .

Omusasi waffe Willy Basoga Kadaama mu kitundu ekyo atutegeezezza nti obubenje buno bubadde bwa mirundi esatu nga akasoose kafiiriddemu omwana wa myaka 12 atomeddwa emmotoka Prado ebadde ku bakuba kampeyini ku kyalo Bukoona ,  ate  mu kookubiri omusajja awanuse ku mmmotoka waggulu ebaddeko abawagizi b’abeesimbyewo n’agwa naafiirawo ku kyalo Busembatya songa akookusatu kabadde ka Noah eyeevulungudde emirundi emingi ku kyalo Nawangisa era omwana abadde ow’emyaka ena n’akalirawo. 

Share.

Leave A Reply