Ekibiina kya
National Unity Platform – NUP kikoze enongosereza mu Ssemateeka waakyo okuteekawo ekkomo ku bisanja omuntu byalina okukomako ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti wamu n’Abakulembeze abalala mu kibiina ku bisanja 2 eby’emyaka 5 buli kimu nga kitandika kisanja ekijja. Enongosereza eno yakukola ne ku Pulezidenti w’ekibiina, Secretary General n’abalala.
Wabula kino tekikola ku muntu atawangudde mu kalulu kaaba avuganyizzaamu.
Omuntu asobola okuvuganya ku kifo ky’obwa Pulezidenti nebwaba si ye Pulezidenti w’ekibiina.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.