Njabulidde FDC – Mugisha Muntu

Maj. Gen. Gregory Mugisha Muntu avuddeyo nawandiika ebbaluwa;

Bannayuganda banange wamu n’abaliiko Bannakibiina kya FDC,

Mbalamusiza,

Mbawandiikidde olwaleero nga njagala mbawe ku byetubadde tukola omwaka guno bukyanga gutandika. Nsuubira nti ekiwandiiko kino kinayamba okubannyonyola lwaki, ebikolwa byaffe ne kitusuubira mu maaso.

Bwetwali tugenda mu kalulu ka President w’ekibiina omwaka oguwedde wabalukawo ebiwayi bibiri mu FDC ekisooka ekyali ekya ‘Defiance’ nga abaali bakiwagira balina endowooza egamba nti baalina kugyemera buli kimu nga basuubira mwebayinza okuyita okufuna obuwanguzi obuggya President Museveni mu ntebe. Kino kyayongera okweyoleka Patrick Oboi Amuriat bweyalangirirwa nga President wa FDC yagamb nti mu bukulembeze bwe yali agenda kugoberera enkola emu ya ‘Defiance’. Wabula eno siyeyali enkola esinga.

Eky’okukola ekiriwo kiri nti Bannayuganda baagala bannabyabufuzi abapya abanatuukiriza ebiruubirirwa byabwe nga era naffe bwetwandika FDC naye nga waliwo ebibiina ebirala era nga muntandikwa twalina Bannabyabufuzi abaava mu bibiina ebirala nga sibasanyufu nabyo. Twasuubira nti FDC yali erina okwebuuza ebibuuzo nga bino;

  1. Embeera y’ebyobufuzi mu Uganda kati yetaaga enkola endala? Okwebuuza bwekuba kwakolebwa kirungi nekuzuula tekinaba ekyo kirungi, bwekiba nti nedda olwo tugenda ku kibuuzo ekirala.
  2. Nkyukakyuka ki ezetaaga okukolebwa okusobola okuziba omuwaatwa guno mu byobufuzi era naffe nga ekibiina tuli beteefuteefu okukola ekyukakyuka? Ebiseera ebisinga obungi wesanga nti bwewaba wetaagisa okubaawo enykukakyuka, ekibiina kyo tekiba kyeteefuteefu kukyuusa.

Nabwekityo okwebuuza kwetwakola twali tugezaako kuddamu bibuuzo bino. Wadde nga siffe tuli mu bukulembeze bwa FDC, tusuubira nti abakulembeze ba FDC bakiriza nti ekyatutwala kwali kufuna byakuddibwamu ku bibuuzo ebigasa ffenna awamu. Bwetwasoma embeera twakizuula nti FDC erimu ebibiina bibiri wamu era nga okutuusa nga kino kigonjoddwa kuba tuyinza obutakoma kwelumaluma.

Nabwekityo bino byetusazeewo;

  1. Kyeyoleka lwatu nti FDC yekutulamu kuba buli omu yakyogeranga eyo gyetwayita okwebuuza olwendowooza ez’enjawulo. Bannakibiina bangi baggwaamu amaanyi engeri obukulembeze obupya gyebutambuzaamu ekibiina oba nange engeri gyenatambuzaamu ekibiina. Kino tetukinenyeza muntu yenna wabula ffenna wamu.
  2. Bannakibiina baagala wabeewo okuddamu okukolera awamu, wadde nga kino kyandiba ekirungi eri ekibiina, okuddingana kinakoma ddi. Ekyokulabirako wenabeerera President w’ekibiina twamala ensimbi nnyingi nga tugezaako okukuumira ekibiina awamu.

Nali musanyufu nnyo okuwaayo ekibiina ekitekutuddemu era nga kirina n’ensimbi ezimala okusinga bwenakisanga.

  1. Bwetusoma embeera y’ebyobufuzi eriwo kyeyoleka lwatu nti waliwo omukisa mu by’obufuzi atakozeseddwa FDC era nga ogukozesa obulungi twetaaga enkola endala mu by’obufuzi.

Nabwekityo munzikirize mbategeeze nti bino byetusazeewo;

1. Tusazeewo okwabulira ekibiina, kino tetukikoze lwa busungu bukulembeze obuliwo era tetukikoze mu nkukutu, wabula tulowozezza nnyo ku nsonga y’okununula eggwanga. Obukulembeze bwa FDC obuliwo katubulekere eddembe busobole okutuukiriza ebigendererwa byabwo awatali kutya nti waliwo abalemesa.

  1. Okuvaawo kwaffe tetwagala kubeeko kutataganya kwonna munzirukanya y’emirimu gy’ekibiina. Wadde twawukanya endowooza kukirina okukolebwa okununula eggwanga tukiriza nti ffenna tulina ekiruubirirwa kyekimu era twagala nnyo kwogera ku nsonga okusinga okusinga okwogera ku muntu era nga tukulembeza ggwanga okusinga endowooza yaffe ffekka.
  2. Tukiriza nti waliwo Bannabyabufuzi abalondebwa ku ticket ya FDC era nga bakiririza mu birowoozo byaffe. Bano tubakubiriza okubeera ab’amazima eri kyebakiririzaamu, baddembe okusuulawo ebifo byabwe nebatweyungako oba okusigalayo nebakola naffe.
  3. Wayinza okubalukawo embeera yonna olw’okusalawo kwaffe, naye tuli betegefu okufunayo akakiiko ka bantu ku njuyi zombi tuteeseganye kungeri gyetuyinza okwabuliramu ekibiina kino mu mirembe.

Nabwekityo, tukiriza nti eggwanga lyaffe okugenda mu maaso lirina okubeera n’ebibiina eby’amaanyi.

Tubategeeza nti bwetunabeera tumaze okwetegeka obulungi era nga tulinako wetuli nga twetaaga okukola nammwe okutuukiriza ebiruubirirwa ebifaanagana enzigi n’emitima ggyaffe migule gyemuli kuba tetuli balabe wabula ab’oluganda mu lugendo.

Maj. Gen. (rtd) Mugisha Muntu

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers' Tournament.

Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers` Tournament. ...

46 2 instagram icon
Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute!

Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute! ...

0 0 instagram icon
Sipiika Anitah Among yeyamye akawumbi kalamba kagenda okuwaayo mu misinde gya Cancer Run 2024.

Sipiika Anitah Among yeyamye akawumbi kalamba kagenda okuwaayo mu misinde gya Cancer Run 2024. ...

12 0 instagram icon
#FreeStyleFriday 🔥🔥🤟 Tukukubira omuziki ggwe nozina 97.3 #RadioSimba Mugiriko Mugiteereddeko Wa ? #SuremanSsegawa Atandise Til 4pm
#suremanssegawa

#FreeStyleFriday 🔥🔥🤟 Tukukubira omuziki ggwe nozina 97.3 #RadioSimba Mugiriko Mugiteereddeko Wa ? #SuremanSsegawa Atandise Til 4pm
#suremanssegawa
...

3 0 instagram icon