muve ku ngombo yaffe – Ouma ne banne

Bannabyabufuzi babiri beesowoddeyo ne balumba Balaam Barugahare ‘Ssaabavvulu’ ku kwagala okwekomya ekisinde kya ‘People Power’ ne bategeeza nti nabo baakiwandiisa dda nga ehhombo y’ekibiina kyabwe eky’ebyobufuzi.

Simon Peter Ouma ne Stephen Wafula bazze baawandiikidde abakulira ekitongole ekiwandiika kkampuni n’ebitongole ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB) eraga nti baatandika ekibiina ky’ebyobufuzi ekiyitibwa Uganda Meritocracy Party (UMP) nga kirina engombo eya ‘People Power’.

Baalagidde URSB ewanduukulule mangu ekibiina ekyekuusa ku ngombo yaabwe kubanga baagiwandiisa mu 2016.

Simon Peter Ouma yagambye nti tebasobola kukkiriza kunyigirizibwa ate nga baawandiisa dda ekibiina ekirina engombo ya ‘People Power’ era yaabwe.

Baagambye nti bakolagana bulungi n’ekisinde kya ‘People Power’ eky’ebyobufuzi era tebabalinaako buzibu bwonna kyokka tewali mulala akkirizibwa kwekomya hhombo yaabwe era bagenda kuttunka mu kkooti.

Loodi Meeya Erias Lukwago awabudde ku batinkiza okuwandiisa abisinde by’ebyobufuzi ebitandikibwawo okukunga abantu oba okuwakanya enkola ya Gavumenti embi nti, bamala budde amateeka tegakkiriza kubiwandiisa era tebiriiko bwannannyini.

Yagambye nti ebisinde by’obufuzi bibaddewo bingi nga bitandikibwa okuwakanya ensonga y’ebyobufuzi ebeerawo mu kiseera ekyo naye oluvannyuma bikoma ate tebikosa bibiina byabufuzi kubanga ababitandikawo baba n’ebibiina byabwe mwe bava era baddayo.

Yagambye nti Ssemateeka akyogerako nti buli muntu asobola okutandikawo ekisinde kye naye bwe kikwatayo obulungi abantu ne baagala okukibba, tebasobola kukiwandiisa nga kisinde okuggyako nga bakiwandiisa nga kibiina kya byabufuzi ekyetongodde.

Yeewuunyizza nti, ‘People Power’ yawandiisiddwa kye yagambye nti, tekisoboka era abantu basaana kuwabula nti abaagala okubba ekisinde ekyo tebalina we basobola kuyita okuggyako nga bakiwandiisizza nga kibiina kya byabufuzi ekitali kyangu.

Lukwago yategeezezza nti ayagala okukomya ekisinde ekyo asobola kukitwaala nga kkampuni ye naye nga ssi kutwala bigambo nga ye bw’alowooza.

Ekisinde kya ‘People Power’ kyatandikibwawo omubaka Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine’ n’ekigendererwa ky’okukunga bannansi okukozesa obuyinza baabwe obubaweebwa mu Ssemateeka balwanyise enkola ya Gavumenti gye batawagira.

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Live Radio 97:3 #Ekikadde TBT You Request We Play Tukudizayo Ddala Emabega Mumyaka  Twegatteko Now 
#EkikaddeKyaRadioSimba
#SuremanSsegawa

Live Radio 97:3 #Ekikadde TBT You Request We Play Tukudizayo Ddala Emabega Mumyaka Twegatteko Now
#EkikaddeKyaRadioSimba
#SuremanSsegawa
...

4 0 instagram icon
🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

8 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

1 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

24 2 instagram icon